P. O. Box 70437 Kampala info@ourladyo,fmountcarmelkansanga.org +256707452109

FFE ABABATIZE, TUTAMBULIRE WAMU NGA TWENYIGIRA MU MIRIMU GY’OBUTUME, (EFEZI 4:1:-16)

Ebilango.

1. SAAFU wakutwalibwa e Lubaga nga 12th October 2025.Ffenna tulina okwongera okusonda ate abakulembeze mu Ekelezia okuviira ddala ku kabondo okutuka ku Parish buli omu alina okuwa okuva ku 10,000/= okweyongerayo. Tujja kubeerayo n’akabo akenjawulo eri SAAFU olwa leero.

2. Kansanga Parish yakakasonda 3,980,600/= eza SAAFU, Esaza lyatuwa target ya 20,000,000/=.Tulina okwongere okusonda sente. Mwebale.

3. Bwanamukulu n’ekitongole ky’abafumbo mu Our Lady of Mt. Carmel Kansanga Catholic Parish bategeeza abo bona abandyagadde okufumbiriganwa ku lunaku lw’ekifo nga 14/12/2025 nti okwewandiisa mu ofice y’ekifo kugenda mu maaso.

4. Leero Ssande nga 07/09/2025 ya kuwayo ekimu eky’ekkumi, tubasaba mufune amabaasa okuva ku bawerezza owoba towafuna bbaasa.

5. Kansanga Parish Executive Committee muyitibwa mu lukiiko lwa mwe nga 9/09/2025 ku Ssaawa 12 ezakawungezi.

6. Tujja kubeera n’omwogezi okuva mu Development Committee.

7. Olukiiko lw’abepisikoopi mu Uganda luyita abakristu mwenna okugenda okwetaba mu kwegayirira okw’olunaku olumu e Nsamby Sharing Youth Centre nga 12/9/2025.Omulamwa “Okukusa abantu, musango” mujje tuwanjagire katonda asumulule ensi yaffe Uganda okuva mukibi eky’okukusa abantu.Essaala ejja kukulemberwa Kitaffe Ssabasumba Paul Ssemogerere tujja kutandika ssaawa bbiri ez’okumakya(8:00am).Entambula ejja kuba ya bwereere wano ku Parish.