P. O. Box 70437 Kampala info@ourladyofmountcarmelkansanga.org +256707452109

OKWOGERA KW’OMUKULU W’EKIFO KU LUNAKU LWOMUWOLEREZA WAFFE BIIRA MARIA OWE KALAMELO.

Fr. Joseph Mukiibi; abakulu abaseserdooti bwetukola omulimu wano, banyabo Banadiini abawereza wano mu Kansanga, Ssaabakristu wa Parish n’olukiiko lwe, abakulembeze ku Bisomesa ne mu Bubondo, ab’olukiiko lwe nkulakulana (Dev’t), abebitongole ebitali bimu n’ebibiina byenkola enkatolika wano mu Kansanga, olukiiko lwa Parish Council n’abantu baakatonda mwena. Mbalamusizza nnyo era mbakulisa okutuuka ku lunaku lw’omuworereza waffe Bikira Maria owe Kalamero. Okusinzira ku kalenda y’eklezia katolika olunaku luno lukuzibwa buli 16th July naye olw’okuba 16th July 2024 olwomwaka guno turugudde ku Ssande; Olwa nnyaffe Maria owe Kalamero abe Kansanga tusazeewo okulukuza leero nga 14th July 2024 mu missa zonna naye nga Missa enkulu ye ye ssaawa ettaano n’ekituudu(11:30 am).

Omulamwa gwaffe ababatize tutambulire wammu nga twenyigira mu mirimu gy’obutume. Twagala tutambalire wamu nga tuddabiriza Eklezia y’ekifo kyaffe. Tutambalire wamu nga Parish nga twebaza katonda olw’obuweereza bwa Fr. Mukiibi mukifo kyaffe kino ekye Kansanga okuva nga February 2020 okutuka mu April 2024.

Erinnya Maria owe Kalamero lye liwebwa Nnyaffe Maria ng’omuwolereza wa Bamonaaki b’okulusozi lwe Kalamero. Ku lusozi Kalamero Nnyaffe Maria kweyawera Simon stock Ssekapulaali eyakitaka ng’ekyambalo kya Bamonaaki b’okulusozi olwo; naye nnyaffe n’ayongera nasuubiza nti buli muntu yenna ayambala era n’afiira mu kyambalo kya Ssekapulaali tagenda kulwa mu Poligatoli, agenda kutwalibwa mangu mu Ggulu.

Twongere okwekwasa Nnyaffe Maria Owe Kalamero atuworereze eby’eggulu byebiba bitunyumira tusobole okutuuka mu bulamu bwe agulu.

Twebaza katonda olwobuwereza bwa Fr. Mukiibi e kansanga okuva February 2020 okutuka mu April 2024.Twebaza ne Fr. Mukiibi olwomulimu gweyatukolamu. Tusaba Nnyaffe Maria Owe kalamero amuwolereze asobole okutuusa abantu b’akatonda mu Ggulu era amukulembere mu buwerezaabwe mu kisulo ekiggya. Tusabe Nnyaffe Maria Owe Kalamero atuwolereze tusobole okufa ku bye ggulu naddala mu kaseera kano nga twemaliza Omulimu ogw’okuddabiriza Eklezia y’ekifo kye Kansanga.

Ekifaananyi kya Eklezia nga bwegenda okulabika tukitadde wano waggulu mu kitukuvu.

Mbagaliza okujaguza obulungi; Nnyaffe Maria owe kalamero atusabire tutambulire wamu nga twenyigira mu mirimu gy’obutume.

 
© Fr. Blaise Zzimbe Ssebizibu
Omukulu w’ekifo